Bya Shamim Nateebwa
Abakulembeze mu munisipaali ye Kawempe bataddewo amateeka amakakali nga terikuddamu kufuuwa mmindi nga abantu beyambudde.
Kino kiddiridde abatuuze ba munispaali eno okwekubira enduulu mu b’obuyinza mu kitundu kino okuggala ebifo omufuuyirwa emmindi bye bagamba nti bijjuddemu,okuwemula ,obucaafu , obwenzi ekiviriddeko amaka okusasika.
Mu minisipaali 5 eza Kampala okuli Lubaga , Nakawa, Kawempe , Makindye ne Kampala Central kumpi mu buli muluka mulimu ebifo ebimanyiddwa ebifuyibwamu emmindi.
E Kawempe buli muluka gulina ebifo ebisoba 30 ebifuyibwamu emmindi ng’eno kati abakazi bakeerayo ku makya nnyo abamu ekibaviiriddeko okusuulawo obuvunaanyizibwa bw’awaka .
Emiluka egyisinze okukosebwa kwekuli Makerere III ne Bwaise