Bya Shamim Nateebwa
Poliisi ekutte omukazi abadde akozesa abaana abatanetuuka
Madrine Kwagala nga ye nnanyini bbaala ya Best Pub esangibwa e Wakaliga yakwatiddwa poliisi ya Kampala Mukadde n’omusajja agambibwa okusobya ku bawala abamukolera.
Okukwatibwa kw’abantu bano kiddiridde omu ku bawala okwemulugunya ku mbeera y’okukakibwa omukwano mu kifo kino.
Waaliwo omuzirakisa, Ashiraf Kyagulanyi ow’e Wakaliga eyali agenze okulaba ku mukwano gwe Ibrahim Jombwe nga DJ mu kifo kino, nga ye yalonkomye abantu bano.
Okukwata omukyala ono kiddiridde abawala babiri okulumirizza omukyala ono okubakulusanya wamu n’okubatunda eri abasajja ye neyefunira ssente.
Akulira poliisi ya Kampalamukadde, Grace Nyangoma akakasizza okukwatibwa kwa bantu bano era omusango ogubavunaanibwa gwa kuyingiriza abakozi n’okukuuma abawala n’ekigendererwa ky’okubakozesa mu nsonga zobuseegu oguli ku fayiro nnamba SD:73/26/04/2017 nga baludde nga bamulimissa oluvanyuma lwabatuuze okwekubira enduulu eri poliisi omwezi oguwedde.
