Skip to content Skip to footer

Abadde atigomya abantu e Nansana akwatiddwa.

 

Bya samuel Ssebuliba.

 

Wano e Nansana Police ekutte omusajja wa myaka 44 nga ono emulanze kwetaba mubunyazi.

Ono okukwatibwa kyadiridde abatuuze okutemya ku polisi nti omusajja ono alina emundu gyakozesa okubba abantu.

Akwatiddwa ye Zabron Bakerwa  omutuuze we Ganda Nansana Division.

Ayogerera police mu kampaa n’emiriraano Luke Owoyesigyire, agambye nti bwebanoonyeza munjuuye bazudemu ebintu okubadde emundu ekika kya Star pistol, ensimbi enjingirire ,kko n’ebintu ebirara ebikozesebwa mukumenya amanyumba ne motoka.

Mukaseera kano ono aggaliddwa ku polisi e Nansana

 

 

Leave a comment

0.0/5