Skip to content Skip to footer

Eby’okukyusa mu nfuga ya gavumenti ez’ebitundu sibyakati.

Bya Ben Jumbe.

Government etegeezeza nga bwetayinza kuddamu kwetegereza nkola ey’okuzza obuyinza ku government ez’ebitundu, newankubadde bangi bagamba nti etandise okuwaba.

Kinajukirwa nti gyebuvudeko sipiika wa parliament Rebeca Kadaga yagamba nti enkola eno tedangamu kwetegerezebwa nkola yaayo, kale nga kino kireese emitawaana egitagambika.

Twogedeko ne minister akola ku government ez’ebintu Tom Butime nagamba enkola eno terina mutawaana kubanga etuusa obuwereza kumpi dala n’omuntu wawaansi.

Kati ono agambye nti ensonga eno ya ssemateeka, kale nga okugikwatako, ssemateka alina okuddamu okutaganjulwa ekitali kyangu.

Leave a comment

0.0/5