Skip to content Skip to footer

Abadde atunda edaga lya Mukenenya akwatiiddwa.

Bya Shamim Nateebwa.

Ekitongole ekikola ekikola ogw’okulondoola eby’obulamu ekya Health Monitoring Unit kiriko omusajja  Emmanuel Ndali gwekikutte nga ono bamulanze gwakutunda dagala ly’agamba nti liwonya mukenenya ne Hepatitis B.

Twogedeko ne Director w’akakiiko kano Dr.Jackson Ojera Abusu naagamba nti ono omukwatte abadde atunda edagala lino okumala emyaka 12 era nga okumukwata yasangiddwa wano mu Lusanja nga atunda edagala lino ku kakadde kalamba.

Dr.Ojera  agambye nti kati edagala lino balitutte okulyetegereza bazuule oba lirimu ekirungo kyona nga omusajja ono bwabadde agamba

Leave a comment

0.0/5