Bya Abubaker Kirunda
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Bukyonda mu disitulikiti ye Buyende omuwala ow’emyaka 10 bw’awanuse ku muti gw’omuyembe neyekatta ennume y’ekigwo n’afiirawo.
Omuwala ono Irene Taila abadde agenze ne nyina mu nnimiro wabula n’asalawo okuwalampa omuyi yeriile ku mpoona ekiddiridde kigwo era t’azzemu.
Ssenteebe w’ekyalo kino Paul Walusa akakasizza akabenje kano era n’alabula abazadde okugaana abaana okulinya emiti waakiri bakozese emiti okukuba emiti gino.
