Bya Damali Mukhaye.
Tutegeezeddwa nga amyuka akulira etendekero lye Makerere Prof Barnabas Nawangwe bwalonze eyali ssentebe wa MUASA- ekibina ekitaba abasomesa Muhammad Kiguddu okukola nga ayogerera etendekero lino nga ono azze mu bigere bya Ritah Namisango.
Ebaluwa eyawandiikibwa nga 18th omwezi guno, eraze nga kigguddu bwagenda okukulira buli kikwatagana n’okwogerera Makarere, era nga guno omulimu agutandikiddewo.
Ritah Namisango agenze okuwumuzibwa nga abasomesa abasoba mu 46 bebakagobwa mu tendekero lino ku mulembe gwa Proff.Nawangwe.