Abatuuze ku kyalo Nankonge mu gombolola ye Ntenjeru mu disitulikiti ye Mukono babutikiddwa entiisa bwebazudde omulambo gw’omuvubuka ng’afiridde mu kidiba.
Omugenzi ategerekese nga Moses Lutaaya atemera mu myaka 15 abadde agenze okwoza pikipiki ya kitaawe ategerekeseko erya Ssemwanga.
Ono olumaze n’asalawo okuwuga, wabula nayolekera amazzi amawanvu gy’amiridde nga tewali amutaasa.
Abayise beebalabye pikipiki n’omulambo nga gutengeyeza ku mazzi nebakowoola poliisi.
Poliisi ye Katosi ng’eduumirwa Francis Manana ezze nebajjayo omulambo neguweebwa abenganda okuziika.
Manana ategezezza nti tebalina nsimbi zakwonoona mu mafuta ga mmotoka nti batwala omulambo mu ddwaliro okwongera okunonyereza ku muntu akakasiddwa nti afudde kabenje.