Waliwo abafumbo abaddukidde ew’omubaka wa gavumenti e Mukono David Matovu nga bagala bayambibwe oluvanyuma lw’ebbiina lyabantu eryabalumbye nebasanyawo buli kimu nga babalumiriza okuleeta ebya wongo ku kyalo.
Peter Kakooza ne kabiite we Edith Naluyima nga batuuze be Mbale mu gomboloola ye Mpunge mu district ye Mukono bebagudde ku kyokya.
Balumiriza ssentebe we kyalo Erimiya Kamali okukulemberamu ekibinja ky’abatuuze nebasanyawo enyumba yabwe, ensuku, ente 5 nebazisala nebazirya, kasooli kiro 800 nebamwokya, nebabba nobukadde 2 nebabuuka nabwo nga bagamba baleeta amayembe agabuzizza ekyalo.
Bano bagumbye wali ku wofiisi yomubaka wa gavumenti nga bagala kuyambibwa, tebalina kyebasigaza.