Entiisa ebutikidde abatuuze be Kayini mu ggombolola ye Kasawo mu district ye Mukono, omuvubuka bwakubye munne ekitti nafa.
Joseph Mubutu owe myaka 22 abadde ayingidde mu lutalo okutaasa wakati wabavubuka ababiri abadde balwana olwa ssente ate ye gwebakubyemu.
Katwere Andy ne munne Ssentamu Yunas babadde bazannya matatu, newabalukawo olutalo omugenzi kwevaayo abataase wano Katwere wanawukidde nava ku gwabadde alwana naye n’amukuba ekiti era nakala nga lumazeemu amazzi.
Ono bamuwaze waze omuddusamu ddwaliro lye Kanisa erya Church of Uganda e Mukono nga yafudde dda mulambo gwennyini.
Kati abatuuze balajanidde aobuyinza okubataasa ku bavubuka abatalina kyebakola, abakeera mu zzaala nga kati atandise kuvaamu bizibu.