
Bya Prossy Kisakye,
Gavumenti etandise okuteeka mu nkola emitendera gyonna egy’okusitula abali mu mulimo gwokwongera omutindo ku birime
Bwabadde ayogerera ku mukolo okwokuteeka omukono ku ndagano wakati wa minisitule eye byobulimi ne kampuni ya Delight Uganda Limited mu Kampala, minisita avunanyizibwa ku byobulimi, Vincent Sempijja, agambye nti kino bakikola okuyita mu ntekateka ezenjawulo
Anokodeyo ekyokuwandiisa abalimi bonna mu ggwanga, gavt okusobola okumanya omuwendo gwa balimi abali mu kugatta omutindo ku birime byabwe basobole okubatekeratekera obulungi
Mungeri yemu minisita agambye nti gavt ekwataganye ne kitongole ekivunanyizibwa ku mutindo mu ggwanga ekya UNBS okulaba nti ebirime ebigattidwako omutindo byonna bifulumira ku mutindo