Bya Magembe Sabiiti
Abantu abawera 600 bebasobeddwa eka ne mukibira nga kati bali mu kubundabunda oluvanyuma lwokugobebwa ku ttaka kwebabadde mu disitulikiti ye Gomba ngettaka lino mu kiseera kino ikuumibwa poliisi.
Abantu bano bali mu disitulikiti ye Kiboga ne Kyankwanzi oluvanyuma lw’okugobebwa ku ttaka lyekibira kya gavumenti ekya Luwunga.
Kinajjukirwa mu mwaka gwa 2014 gavumenti ngeyambibwako ebibiina by’obwanakyewa yabawa ensimbi Akawumbi kamu n’obukadde 600 Nebagula ettaka okuva ku Stella Kakuba ku kyalo Ddegeya mu gombolola ye Maddu e Gomba nate kwebagobeddwa.
Ssentebe we gombolola ye Maddu mu disitulikiti ye Gomba abantu bano gyebali bewogoma Mugenyi Vincent ategezeezza nga Police bwekozesezza amanyi agasukiridde okugobaganya.