Bya Magembe Sabiiti
Abakadde abemyaka 80 mu disitulikiti ye Mubende abebawebwa ensimbi 25000/= buli mwezi okuva mu gavumenti bakukulumye, olwokubayitanga okubawa ssente ate nezitabawebwa kati emyezi 9.
Embeera eno esinze kukosa abakadde abali mu South division, mu munispaali ye Mubende.
Bagamba nti bewuubye okumala ebbanga mu bukoowu bwebalina, nayenga tebabawa ssente.
Kati bebuuza obanga gavumenti yabasubiza byoya bya nswa.
Wabula omuwandiisi wensonga z’abakyala abakadde nabaana ku lukiiko lwa district olufuzi Tattu Mwiru alaze obwenyamivu olwembeera eno, abakadde gyebayisiddwamu.