Bya Ivan Ssenabulya
Minister wabavubuka nabaana Owek. Florence Nakiwala Kiyingi asisinkanye omwana omuyimbi Patrick Ssenyonjo amanyiddwa nga Fresh Kid amakya gano, nebawayaamu.
Ensisinkano eno ebadde ku wofiisi ya minister mu Kampala, era yetabiddwamu n’abaddukanya emirimu, gyomwana.
Nakiwala Kiyingi alaze obukulu bwokusomesa omwana ono, wabula yeyamye okumuwagira mu byokuyimba kwe, nokusoma.
Wabula bino byadiridde abantu ababadde banenya minisita obutayamba mwana ono, wabula namugulako olutalo okumugaana okuyimba ngayagala addeyo asome nokumwekebejja obwongo obanga taliiko biragalalagala byakozesa.