Bya Damali Mukhaye
Abakozi be Makerere abawumuzibwa ku mirimo gyabwe abeegatira mu kibiina ekya Makerere Administrative Staff Association bakaladde nebategeeza nga bwebagenda okudda ku mirimo singa Makerere teegoberera mateeka agalambikiddwa.
Kinajukrwa nti amyuka akulira etendekero lino Prof Barnabas Nawangwe nga 21st December 2018 yagoba Bennet Magara akulira ekibiina kino ne Joseph Kalema, amumyuka nga bano abalanga kugeezako kutataaganya ntuula z’olukiiko olufuga etendekero lino.
Bano twogedeko nabo nebagamba nti okuwumuzibwa kwabwe kulina okumala sabiiti 4 zokka, era nga muno mwebalina okuyitira benyonyoleko , wabula nakaakano mpaawo kiwandiiko kyebaafunye ku nsonga eno.
Kati bano bagamba nti singa sabiiti 4 ziyita nga mpaawo abayise, bagenda kudda bakole emirimo gyabwe