Bya Moses Ndaye.
Ebibiina by’obwanakyeewa ebitadde gavumenti ku ninga nga kino kidiridde okukimanyaako nti kakano ensimbi z’abavubuka tezigenda kuddamu kubeera wansi wa minisitule ekola ku kikula ky’abantu, wabula zigenda kubeera wansi wa maka g’obwa pulezidenti.
Bano abeegattira mu kibiina ekiroondoola eby’embalirira ekya Civil Society Budget Advocacy Group, bagamba nti singa sente zino zinaagenda mu maka g’obwa president zigenda kuvulugibwa, zigagabibwe okusinziira ku kibiina byobufuzi , songa ne palamenti egeda kuba tesobola kuzilondoola bulungi.
Twogedeko n’akulira ekibiina kino ekya CSBAG Julius Mukunda naagamba nti ensimbi zino tezigwana kutataaganyizibwa, zirina okusigala mu minisitule y’ekikula ky’abantu gyezibadde