Gavumenti ye Uganda n’eya Amerika batandise okukolera awamu okuvaayo ne pulaani enayamba okulwanyisa obutujju.
Kino kiddiridde ensisinkano wakati wa ssabaminisita w’eggwanga Dr. Ruhakana Rugunda n’akola ku by’okwerinda by’abantu babulijjo mu Amerika ssaako n’okulwanirira eddembe ly’obuntu Sarah Sewall.
Ensisinkano eno ebadde ku ofiisi ya ssabaminisita nga egendereddwamu okuteesa ku butya amawanga gombi bwegasobola okulwanyisamu obutujju mu kitundu.
Mukyala Sewall ategezezza nti yadde nga enkola y’ekinamagye evuddemu ebibala, basaana okutunulira ebiyinza okuziyiza abaana abato okufuuka bannalukalala.
Ye ssabaminisita Rugunda asabye amawanga gonna okukolera awamu okulaba nga abatujju bano tebafuna kyanya kuwandiisa bantu balala kubegatta mu bikolwa byabwe eby’ekitujju.