By Sam Ssebuliba
Abakozi ba kampuni ya CNOOC oil abazimba ebbibiro ly’amasanyalaze erya Karuma Hydro Power Project e Kiryandongo bediimye nga bemulugunya ku misolo emikakali egibwagibwa n’obukyafu obususse.
Abakozi bagamba abadisistulikiti ye Kiryandongo baabasabye omusolo 10$ ku musaala gwabwe nga kwotadde ogwa gavumenti wamu n’ezekitavu ky’abakozi zebagamba nti ziyitiridde.
Bano bagamba nti bazze basaba okwongezebwa omusaala olw’emisolo gino naye nga buteerere nabo kwekusalawo okuteeka wansi ebikola.
ssentebe w’ekibiina ekigatta abakozi ku bbibiro lino Akoch Frank agamba baakusisinkana olwaleero balabe ekyokukola.