Bya basasi baffe
Abakulisitu okwetoloola eggwanga batandise okutambula mu kkubo ly’omusaalaba nga bajjukira Yeesu Kulisitu olunaku lweyatibwa.
Mu kampala amakanisa egenjawulo gasuubirwa okukunganira ku ssomero lya Old Kampala mu kusaba okwawamu.
Ab’ekeleziya ye Rubaga bakulembeddwamu Fr. Joseph Ssebunya nga era baakuyita Mengo Kisenyi boolekere Old Kampala.
Ssabassumba w’ekanisa ya Uganda Stanley Ntagali yakumebeddemu abavudde ku Kanisa ya Allsaints
Ate Vicar General wa Kampala Musinya Charles Kasibante wakukulemberamu abav ku ekeleziya ya St Peters Nsamba .