Bya Shamim Nateebwa
Nga twetegekera okukuza amazuukira ga Yesu Kristo ag’omwaka guno,Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda II asabye abantu bbe Okwenyigira mu by’obulimi n’obulunzi okukozessa ennimiro okulima ebirime ebyanguwa okukula n’okweyambisa amagezi agabawebwa abakuggu.
Ssabasajja mungeri yemu yenyamidde olw’obulwadde bwa sirimu obwali butandiise okukendera naye nga kati bweyongera buli kiseera bwatyo n’akubiriza abantu bbe okukola ekisoboka okwewala edwadde eno anmutta nokwekebezza buli omu amanye bwayimiridde
Omutanda mububaka bwebumu obwa mazalibwa asabye abantu abagenda okufumbirwa okwekebeza nga obulwadde bwa Nalubiri kibasoboozesse okuzaala abaana abalamu nga bwebanakola ebyo twakubeera neggwanga eddamu ekinatusa ku nkulakulana eyanamaddala nga mwotwalidde nokwegobako obwavu .