Bya Shamim Nateebwa
Ng’abakulistaayo betegekera okukuza amazukira, Poliisi eriko ekiwandiiko ky’efulumizza mwebakakasirizza nti eggwanga bweritebenkedde awatali bwerakirivu bwonna.
Ekiwandiiko kino kisomeddwa omogezi wa poliisi AIGP Hassan Kasigye era nasaba abantu babulijjo okujaguza mu mirembe ate okusigala bulindaala k kabi konna akayinza okubatusibwako abantu abakyamu.
Kati ku butemu obwabadde mu bitundu bye Kireka ne Bweyogerere, Kasigye agambye nti buno butmu obutono tono obukolebwa abantu era abatono okuva mu maka agenjawulo mu bitundu, kalenga tewali kutya.