Bya samuel ssebuliba.
Ekiwayi ky’abanamateeka okuva mu kooti y’ensi yonna etuula mu Hague bataka mu uganda mwebagenda okumala enaku taano, nga bano bagenda kwetegereza ebikoloberi ebyakolebwa e Gulu and Lira.
Bano mukujja bakulembedwamu akulira amawanga ganamukago nga ono ye mulamuzi O-Gon Kwon, akulira ensawo edukirira abaakosebwa ebikolobero Pieter de Baan n’omubaka wa Ireland mu Hangue Kevin Kelly.
Twogedeko n’omukwanaganya wa kooti eno mu uganda ne kenya Maria Kamara , n’agamba nti bano baze wano okwetegereze emirimo gya kooti eno, ko n’okwongera okumanyisa abantu beeno ku mirimo gya kooti eno
Kinajukirwa nti mu mwaka 2002 kooti eno yatondawo ekiwayi eky’okudukirira abaakosebwa entalo zino era nga mu uganda ekola.