Skip to content Skip to footer

Ensinga z’abasibe obutalonda zitwalidwa mu kooti.

Bya  Ruth Anderah.

Waliwo munna- Uganda adukidde mu kooti nga ayagala abasibe mu uganda bakirizibwe okutandika nabo okulonda nga banabwe abalala abali ebweru.

Steven Kalali,yadukidde mu kooti nga agamba nti akakiiko k’ebyokulonda kagwana kakirize abantu bonna abalina emyaka 18 okwetaba mu kulonda nga tebasosodde bali mu komera.

Ono  mungeri yeemu ayagala nebannayuganda abali e bunayira  bakirizibwe okulonda nga bwekiri mu mawanga amalala, nadala nga bakyalina butuuze wano kubutaka.

Kati ono ayagala  akakiiko k’ebyokulonda kakwatagane  nekitongole kyebyamakomera okulaba nga kino kitekebwa mu nkola.

Leave a comment

0.0/5