Abalamuzi bazze na nkuba mpya mu kulya enguzi
Kizuliddwa nga abalamuzi kati ensimbi z’enguzi bwebazifunira ku massimu gaabwe nga bayita mu nkola ya Mobile Money.
Bino bifulumidde mu alipoota ekoleddwa ekibiina ekirwanyisa obuli bw’enguzi ekya anti-corruption coalition Uganda nga kino abalamuzi bakilola obutabalondoola nga bwekiba nga bafunye nsimbi nkalu.
Alipoota eno kino ekitadde ku bannayuganda butamanya dembe lyabwe nga mukifo ky’okulibanja begayirira libawebwe.
Mukononyereza okwemyezi 4 okukoleddwa mu makooti agali mu bitundu nga Kasangati, Matugga ne Mukono kizuliddwa nga enguzi bwekyali ekizibu mu makooti agawansi nga era kkonde ddene eri essiga eddamuzi.
Akulira ekibiina ekilwanyisa obuli bw’enguzi ekya anti-corruption coalition Uganda, Cissy Kagaba agamba essiga eddamuzi lisanye okutunulira nkaliriza ebigenda maaso mu kkooti zino ento okumalawo namujinga ono mukifo ky’okwekazakaza nebasitukiramu nga omusango gumaze okuzibwa.
Kagaba era awakanya eky’okukyusa abalamuzi ababa bakwatiddwa mu buli bw’enguzi kubanga mpawo kyekiyambye kale nga basaana kugobwa singa gubakka mu vvi.
Nga ayanukula ku bizuliddwa bino, amyuka omwogezi w’essiga eddamuzi Araali Muhirwe akkirizza nga bwewaliwo ekizibu wabula nga kino kivudde ku misango egyetuuma mu makooti.
Wabula agamba nabo tebatudde bakola ekisoboka okulwanyisa obukavvuzi bw’engusi n’awa eky’okulabirako ekyabagobwa mu kkooti y’e Nakawa oluvanyuma lw’okuzulibwa nti b’alya ekyoja mumiro.