Amyuka sipiika wa palamenti omukulu Jacob Oulanya asazizzaamu ekiragiro ekyayisiddwa nti bannamawulire abamaze emyaka etaano mu palamenti bagobweeyo
Bino byabadde mu bbaluwa eyassiddwaako omukono gw’omuwandiisi wa palamenti Jane Kibirige nti eno y’engeri yokka ey’okumalawo obwa kyekubiira
Bw’abadde ayogerera mu palamenti, Oulanya agambye nti ensonga eno tetesebwangako kale ng’ekiragiro tekisobola kuva mu bbanga
Ono era asabye bannamawulire obutassa magezi ku kiwandiiko kino kuba tekiriimu nsa
Bino bigenze okujja nga bannamawulirea ba palamenti bakawera nga bwebajja okusibira palamenti ekikookolo ssinga bino tebikyuuka
Bbo ababaka bongedde okuvumirira ekiwandiiko kino nga bagamba nti kulinyirira ddembe lya bannamawulire
Ababaka okubadde Gerald Karuhanga, Samuel Otada, Benson Ogwal ne Brenda Nabukenya bagamba nti bakusimba mabega wa bannamawulire.