Skip to content Skip to footer

Abaliko obulemu bekakaasa lwa tteeka

Bya Ritaha Kemigisa

Abakyala abaliko obulemu ku mibiri gyabwe balumbye wofiisi zekitongole ekibatwala ekya National Union of Women with Disabilities of Uganda e Kisaasi, nebatanula okwekalakaasa, nga bawakanya ebbago lya PWD bill erya 2018.

Etteka lino mu bubage wetwogerera nga lyasindikibwa mu kakaiiko ka palamenti, akekikula kyabantu nga bagenda kutandika okulyekenneya olunnaku lwenkya.

Kati nga bakulembeddwamu Peace Sserunkuma omunonyereza okuva mu kibiina kya Legal Aid for Persons with Disabilities, banenya gavumenti okubaleka emabega, atenga etteeka libakwatirako ddala.

Bagamba nti nga bweriri teryogera ku nsomga zabakyala nabaana abwala, abaliko obulemu kungeri yokufunamu obwenkanya.

Leave a comment

0.0/5