Skip to content Skip to footer

Kabineti eyisizza etteeka ku booza mu ssente

Bya Juliet Nalwoga

Olukiiko lwaba minister lukakasizza era neruyisa ebbago eryokulwanyisa, obufere bwokwoza mu ssente erya Money laundering bill 2018.

Wewaawo nga wabaddewo etteka ku muze guno, erya Operational anti-money laundering act, wabula obumu ku buwayiro bubadde tebukiriza kitongole ekirwanyisa obufere buno, ekya Ugandan financial intelligence authorities, kukola bulungi mirimu.

Kati omumyuka womwogezi wa gavumenti Shaban Bantariza agambye nmti kino kyayisiddwa mu lutuula lwolunnaku lwe ggulo, olwakubiriziddwa omukulembeze we gwanga.

Etteeka lino era lilubiridde okulwanyisa ebikolwa ebyobutujju, nababitekamu ssente.

Kati ebbago lino ligenda kuletebwa mu palamenti.

Leave a comment

0.0/5