Bya Shamim Nateebwa
Mu kawefub okwongera amaanyi mu kulwanyisa ekirwadde kya kokolo, ministry yebyobulamu eyongedde ku nsimbi, eri eddwaliro lya kokolo erya Uganda Cancer Institute mu mwaka gwebyensimbi ogujja, 2019/20 okutuuka ku buwumbi 8 nobukadde 400.
Kino kyabikuddwa atwala ebyobujanjabi ku ministry Dr. Charles Olara, ku mikolo gyokukuza olunnaku lwa kokolo.
Agambye nti bakwongera ku bujajjabi bwa kokolo, atenga agambye nti ne ntekateeka yokulwanyisa ekirwadde kino bagibaze, nga kati enatera okujibwako engalo.
Ebibalo okuva mu ministry yebyobulamu, omuntu 1 ku buli bantu 6, balwadde ngabantu obukadde 9 nobukadde 600, bebafa buli mwaka.