Skip to content Skip to footer

Abalina obulemu bakukulumye

BALEMAAbantu abagwa mu kikula ky’abantu ekyenjawulo baagala gavumenti eyongere ku nsimbi zeteeka mu mablirira yaabwe ey’ebyobulamu.

 

Okusinziira ku mubaka omukyala owe Koboko Margaret Babadiiri  obukadde 100 gavumenti zeteekateeka okubawa mu mwaka gw’ebyensimbi guno ogwa 2016/2017 ntono ddala okukola ku by’obulamu bwabwe.

 

Babadiiri agamba abakyala abalina obulemu ku mibiri gyabwe bafuna obuzibu okufuna obujanjabi olw’ebbula ly’ensimbi kale nga betaaga obugaali bw’abalema, ebitanda by’abalema n’ebirala .

 

Kati omukugu mu byembalirira okuva mu kibiina ky’obwanakyewa ekya Civil Society Budget Advocacy group David Walakira  agamba embalirira y’abantu bano yonna esanye eddemu okwekebejebwa.

 

Mungeri yeemu minisitule y’ebyenjigiriza esabiddwa okuzimbayo amasomero g’abantu abalina obulemu ku mibniri gyabwe amalala.

 

Omubaka wa Kiboga East James Kyewalabye  agamba eggwanga lirina amasomero g’abalina obulemu matono ddala ekiviriddeko bangi obutasoma.

 

Kyewalabye agamba okuzimbibwa kw’amasomero gano kyakuyamba okukendeeza ku muwendo  baana abalina obulemu ku mibiri gyabwe abatasobola kusoma nakuwandiika.

 

Leave a comment

0.0/5