
Waliwo abaana ba nabansasaana abazaaliddwa mu ddwaliro lye Masaka.
Abaana abazaliddwa tebalina bitundu bya kyama , ate ng’amagulu balina asatu.
Omukyala azadde abaana bano ye Sharon Akankunda nga we Lwemiyaga.
Dokita akola ku mukyala ono Herbert Kalema agambye nti kyandiba ekizibu abaana bano okuwona kubanga tebalina bitundu byakayama, ekyenda balina kimu n’amagulu balina asatu.
Bakadde b’omwana ono basabye obuyambi okusobola okwawula abaana bano