Bya Moses Kyeyune
Amyuka Sipiika wa palamenti Jacob Oulanyah awadde akakiiko ka palamenti akakola ku byembalirira obutasukka lwaleero nga kamalirizza alipoota ku mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2017/2018 .
Akakiiko kano olwo kalina okudda ku palamenti olunaku lw’enkya n’snsimbi ezirina okulabikira mu mbalirira.
Yadde nga akakiiko kabadde kalina okuwaayo alipoota leero, sipiika Oulanya ategezezza nti wakyaliwo ebikyakolebwako.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asuubirwa okusoma embalirira nga 8 June 2017 wali ku Serena Conference centre.