Skip to content Skip to footer

Abalonzi batabuse e Nakaseke

File Photo: Bana Nrm nga balwana
File Photo: Bana Nrm nga balwana

Abalonzi mu bukiikakkono bwa disitulikiti ye Nakaseke balumbye ofiisi awagattirwa obululu mu kibuga kye kiwoko nga beemulugunya ku mivuyo egyafumbekedde okulonda

Abatuuze bano bavudde mu ma gombolola okuli erye Ngoma, Kinyogoga ne Kinoni sub-country.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah Lameck Kigozi agambye nti abatuuze ekibajje mu mbeera kwekulaba nga ebivudde mu magombolola ge wala bigattibwa kyokka ng’ebyaabwe biri awo.

Agambye nti nga poliisi basazeewo okuggalira abakola ku by’okulonda bonna okwewala akavuyo akabadde kayinza okuddirira.

Mu babadde mu kalulu keeno kuliko Syda Bumba ne Kasolo Sajjabi.

Leave a comment

0.0/5