Bya Malik Fahad
Abalunzi b’ente mu disitulikiti ye Rakai bassattira olw’ekirwadde ki kattira ekilumba amagana gaabwe.
Ebitundu ebisinze okukosebwa biri mu magombolola ge Kifamba ne Kakyera nga era okusinziira ku balunzi ente zaabwe zisooka kukwatibwa kamunguuze nezizunga ekiziviirako okufa.
Omu ku balunzi abakoseddwa ye Joseph Mukasa atutegezezza nti nte zino zifuluma obusa obukaluba nga era ye yakafiirwa ente 2 kati.
Akulira abasawo b’ebisolo ku disitulikiti ye Rakai Dr. Kiwanuka Kimbugwe agamba ekirwadde kino kiva ku nkwa nga kino kivudde ku balunzi abasing okwesulira ogwanagamba okufuyira ebisolo byabwe.