Bya Ruth Andera
Abantu 14 abavunaanibwa okutta abakulembeze b’abayisiraamu mu ggwanga basazeewo okusirika ekisera kyonna nga kkooti ewulira emisango gyabwe esinziira ku ku bujulizi bwokka obwaleetebwa okusala omusango.
Bano nga bakulembeddwamu akulira abatabuliiki Amir Ummah Sheikh Yunus Kamoga olwaleero balabiseeko mu kkooti okutandika okwewozaako wabula nebasalao okufuuka kyesirikidde nga era obubaka babutisse bannamateeka baabwe Fred Muwema ne Macdusman Kabega .
Omulamuzi Ezekiel Muhanguzi abategezeza nti balina ebyokusalawo 3 okqwewozaako okuli okukwata mu kulaani balayire eri abasiramu, okwewozaako ab’oludda oluwaabi babasoye ebibuuzo oba okusirika bbo nebasalawo okufuuka kyesirikidde.
Bano kati babazizza ku meere e Luzira okutuusa nga 26th/May 2017 .
Kamoga ne banne bavunanibwa okutta sheikh Mustafa Bahiga ne Hassan Kirya wamu n’okugezzako okutta Shiekh Haruna Jjemba wamu n’emisango gy’obutemu.