
Bya Damali Mukhaye,
Akakiiko kavunanyizibwa ku byensoma mu ggwanga aka National Council for higher education kalabudde amatendekero agawaggulu okwewala okudamu okusomesa abayizi ngómukulembeze weggwanga tanabakkiriza
Okusinzira ku bbaluwa ewandikibwa akulira akakiiko kano prof Mary Okwakol agambye nti abafunye abakulu ba matendekero bangi nga basaba bademu okusomesa abayizi nga bagamba nti betegese bulungi
Wabula ono agambye nti olukusa ku masomero okuggula omukulembeze weggwanga yekka yalulina kuba yeyagaggala.
Okwakol wano wasabidde amasomero okuba amagguminkiriza