Omukulembeze wegwanga lya Kenya Uhuru Kenyatta avumiridde obulumbaganyi obwakoleddwa ku Riverside era alayidde, okuvunaana bonna ababadde emabega wobutujju buno.
Bwabadde ayogera ne banamwulire amakya gano, president Kenyata akakasizza nti abantu 14 bebatidwa songa abasoba mu 700 ababadde mu buwambe, banunuddwa.
Aweze nti Kenya tejja kutisbwatisbwa, nga nabo ngabakulembeze agambye nti tebajja kuva ku birooto byabwe, okuzimba egwanga nokulitebenkeza.
Wano asabye abantu okubeera abakakamu, era baddeyo ku mirimu, baveemu okutya, nga nebikwekweto ebyokuzza embeera mu nteeko mu kifo awabadde obulumganyi buno bigenda mu maaso.
Yye minister owensonga zomunda mu gwanga Fred Matiangi agambye nti embeera egenze edda mu nteeko.