Bya Samuel Ssebuliba.
Egye lye gwanga erya UPDF litegezeza nga buli kimu bwekijiddwako engalo, okukuza wiiki yamagye ey’omwaka guno egenda okutongozebwa nga 29th January 2019, mu district ye Kitgum.
Entikko y’emikolo gya Tarehe Sita egy’omulundi ogwe 38th gyakubaawo nga 6th February wansi womubala ogugamba nti “egye lya UPDF n’abantu: okukwatiza awamu okusaawo obutebenkevu n’enkulakulana.
Omukwanaganya w’amagye n’abantu babulijjo Brig Henry Masiko agambye nti bingi ebigenda okukolebwa naddala mu district omunaana ezikola Acholi Sub region, nga kuno kwekuli Kitgum, Agago, Pader, Gulu, Amuru nendala.
Muno mugenda kubaamo okujanjaba abantu mu nsisira z’ebyobulamu nebiralala.