Bya Damali Mukhaye, Minisita w’eby’enjigirizza ne mizannyo Janet Museveni ategezeza ng’omutindo gw’eby’enjigiriza mu nkola ya bonna basome ku mutendera gwa primary bwegukyali wansi.
Bwabadde mu kubaganya ebirowoozo kwebyo ebitukidwako mu by’enjigiriza mu mwaka gw’eby’ensimbi 2018/2019 mu Kampala, muko omukulembeze we ggwanga lino ategezeza nga newankubadde nga omuwendo gw’abayizi kwe bayitira mu bonna basome gw’eyongedde okuva ku bitundu 91% okutuuka ku bitundu 91.4%, engeri abaana gye bategeeramu ekyali wansi nyo.
Okutegeera kw’abaana mu kibiina ekyo kusatu kuli ku bitundu 49% songa ab’ekibiina ekyo 6 okuteegera kuli ku bitundu 53%, wakati wa July 2018 ne June 2019,
Kati asabye bakugu mu by’enjigirizza okuvaayo bunambiro okunonyereza kunsonga eno okusobola okugyinogera eddagala.