Omukulembeze w’eggwanga lya Kenya assizza omukono ku tteeka erikkiriza okuwasa omukyala asukka mw’omu
Etteeka lino likkiriza enkola y’ennono ekkiriza abasajja okusajjalaata
Mu kusooka etteeka lino lyawakanyizibwa nnyo ababaka abakyala abaali bakiwakanya kyokka nga bbo abasajja bagamba nti kirungi era kijja kukendeeza ku bwenzi
Mu tteeka lino, omusajja asobola okuwasa omukazi w’okubiri nga teyebuuzizza kw’asooka
Mu nnono, omusajja yenna okuwasa omukazi w’okubiri abadde alina kusooka kufuna lukusa lw’omukyaala asooka