
Abaddukanya essomero lya Batvalley Primary school bawakanyizza ebigambibwa nti okusabira mu kifo kino kukosa ebyenjigiriza
Ng’alabiseeko mu kakiiko akanonyereza ku kibbattaka ly’amasomero mu kibuga, akulira essomero lino Dr Rajni Tailor agambye nti bapangisa ekizimbe omukubwa enkungaana eri omusumba Aloysius Bugingo okusobola okufuna ku nsimbi
Tailor agambye nti okusaba kubaawo ku malya g’ekyemisana gokka ne ku sande , ate ng’olwo abayizi tebabaawo.
Ono agambye nti essomero lyetaaga ssente okulirongoosa n’okulikulakulanya nga kino tekisoboka ku busente obutono bwebaggya mu bayizi.