
Ssabasajja Kabaka wa Buganda alagidde Katikiro w’amasiro ge Kasubi agobe abatundirayo eddagala wamu n’abo abasamirira mu kifo kino.
Okiragiro kino akitisse Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu lukiiko lwa Buganda olugenda mu maaso wali e Bulange Mengo.
Beene era ayingidde mu kusika omuguwa wakati wa Nalinya w’amasiro g’e Kasubi n’akulira okusereka amasiro Kaddu Kiberu.
Ssabasajja mungeri yeemu alagidde obuwangwa butambule n’omulembe mu kuzimba amasiro.
Olukiiko lwa Buganda lutudde olunaku olwalero okusomerwa embalirira y’omwaka gwebyensimbi oyomwaka gwa 2015/2016.
Omwaka gwebyensimbi oguwedde obuganda bwatambulira ku mbalirira ya buwumbi 7 era nge ensimbi zino zasinga kuva mu kitongole kya Buganda eky’ebyettaka ekya Buganda land board,ekitongole kya nkuluze wamu nokutunda satifikeeti .