Bya Ritah Kemigisa.
Tutegeezeddwa nga abaserikale abakuuma byalo abasoba mu 6000 abakawandisiibwa bwebatandise leero okutendekebwa mu somero lya police elya Kaweweta training center wano e Nakaseke.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire ayogerera government Ofwono Opondo agambye nti okutendeka kuno kwakumala emyezi 4 gyokka.
Ono agambye nti abatendekebwa bonna baayita , era nga balina buli kisaanyizo.
Kinajukirwa nti pulezidenti yali alagidde nti abaserikale bano 24,000 bebaba bawandiikibwa mu kampala n’emiriraano okuyambako mukulwanyisa obuzzi bwemisango.