Skip to content Skip to footer

Abasibe tebafuna zakulya

Ababaka ba palamenti abaatuula ku kakiiko akakola ku byokwerinda n’ensonga z’omunda mu ggwanga kenyamidde olw’ensimbi entono eziriisa abasibe

Kiddiridde aba makomera okubategeeza nga bwebatafuna obuwumbi nsimbi zirina kuliisa basibe

Akulira amakomera, Dr Johnson Byabashaija ategeezezza ababaka nti buli musibe babubalira shs 3000 buli lunaku lyokka nga nazo tezijja.

Kino kinyizizza ababaka okubadde Theodore Sekikuubo, Semujju Nganda ne Odonga Otto nga bagamba nti kuno kulinyirira ddembe lya basibe

Ebyo ng’obitadde ku mabbali, eby’omusibe eyatoloka awasibirwa abazizza ogwannagomola akyanyeenyesa bangi emitwe

Moses Wagaba eyali yadduka kati omwana mulamba addiziddwaayo leero

Byabashaija agamba nti bakyanonyereza okulaba engeri omusajja ono gyeyatolokamu n’okumusalira ekibonerezo

Leave a comment

0.0/5