Bya Ritah Kemigisa
Abayizi emitwalo 60 bebagenda okutuula ebigezo byekyomusanvu ebyakamalirizo ebyomwaka guno, okwetoola egwanga, ebitandika wiiki ejja nga 5th nenkeera waalwo nga 6th November.
Bwabadde ayogera ne banamwulire ku kitebbe kya UNEB e Ntinda, Ssabawandiisi wekitongole kyebigezo mu gwanga Dan Odongo agambye nti omuwendo gwabaana abewandiisa gweyongedde nebitundu 3.9% ngabsinga baana babuwala.
Ku bayizi emitwalo 67 mu 1,923, abayizi emitwalo 34 mu 6,693 babuwala ate emitwalo 32 mu 4,960 balenzi.
Agambye nti ebyokwerinda byakunywezebwa, nga bakweyambisa absirikale ba poliisi nebitongole ebiralala ebikuuma ddembe.
Abantu 10,000 bebagenda okukuuma ebigezo bino mu bifo 13,072 bitundu bye gwanga ebitali bimu.
Olunnaku olwenkya abayizi lwebagenda okulambikira amateeka aganagobererwa nebyebalina okwewala nga bkola ebigezo.