By Ritah Kemigisa.
Ekitongole ekikola ku nsonga z’ebibuuzo ekya UNEB kitegeezeza nga bwekizudde amasomero 10 nga gano getegese okwetaba mukubba ebibuuzo bya P.7 ebitandika omwaka sabiiti ejja.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire wano e Ntinda , omuwandiisi wa UNEB Dan Odongo agambye nti bafunye ibukakafu obulaga nti waliwo amasomero agali e Kasese ne Wakiso agategesse okubba ebibuuzo mubuli ngeri.
Kati bano Odongo abagambye nti bagwana bakimanye nti olukwe UNEB erutegedde, kale nga tebakigeza kigenda kuteeka abaana mu ktyabaaga.
Wabula ye omwogezi wa police Emiliano Kayima akasiza nga police bweyetegesse okuwa abagenda okukola ebibuzo bonna obukuumi, era nga anaagezaako okwetaba mubikolwa ebyekko wakukajuutuka.
Kinajukirwa nti abaana emitwalo 67 bwebagenda okutuula bye P7 omwaka guno nga bano beyongedde okuva ku mitwalo 64 abaatula oguwedde.