
Abasoma obusawo ku ddwaliro ekkulu e Mulago basuubirwa okusisinkanmu akakiiko ka palamenti ake’byobulamu bateese ku nsonga zaabwe ezibaluma ezabaviirako n’okwediima.
Akulira ekibiina ekigatta abasawo bano Dr.Fauzi Kavuma agamba era bakusinkana ne minisita w’ebyobulamu ku ssaawa 5 ezokumakya.
Bano bekalakaasa wiiki ewedde nga bawakanya okulwawo okutendekebwa mu nkola ya Internship sso nga era bawakanya eky’okubeera ekyobuwaze okukolera mu malwaliro ga gavumenti emyaka 2 nga bamaze okutendekebwa.