Oluvanyuma lw’okwesogga empaka za Africa ez’omwaka ogujja ttiimu ya Uganda Cranes kati etunulidde biseera byamumaaso.
Olunaku lw’eggulo Ugandaa yegyeko ekikwa ky’obutakiika kati emyaka 38 bweyakubye Comoros 1-0 okwesogga empaka za Africa.
omukwasi wa goolo ya Uganda Denis Onyango ategezezza nga bwebasanye okwanguwa okwetegeka okulaba nga Uganda ekola bulungi mu mpaka zino eza Africa.
Ye omutendesi Micho Sredejovic asabye abazanyi okusigala ku mulamwa okulaba nga Uganda tekoma ku byakuyitamu wabula ekole bulungi mu mpaka zonna.