Ng’abasomesa bagenda mu maaso n’okwekalakaasa, abazadde abasinga leero basazeewo butatawaana kusindika baana ku ssomero
Ku ssomero lya Kyagwe road primary school, Nakivubo blue primary, Nakivubo settlement ne Bat valley primary school , abayizi balabise nga baakendedde okusinziira ku baatandise olunaku lwajjo
Abasomesa betwogeddeko nabo bagamba nti balinze ebinaava mu Lukiiko olw’okuna wakati w’ekibiina kyaabwe ne gavumenti
Akulira omukago gw’abasomesa bano Margret Rwabushaija agambye nti bakyagenda mu maaso n’akeediimo kaabwe okutuuka nga bakakasizza nti omusaala gwaabwe gwakukyukako
Mu bitundu ebitali bimu, embeera ya kimpowooze ng’abayizi basiibye bazannya.
Twogeddeko n’abayizi ba Kololo High school ng’okusaba kwaabwe kuli nti abasomesa bakomewo mu bibiina.
Ate mu bitundu ebirala, e Sembabule, amasomero mangi gasiibye maggale
Ku ssomero lya St Andrew Mateete ne Katimba pulayimale , abayizi basindikiddwa ewaka oluvanyuma lw’abasomesa obutalabikako
Atwala essomero lya St. Andrew Mitete Mathew Kayizi agambye nti balina abasomesa 16 kyokka nga ku bonna teri alabiseeko
Wabula ate amasomero mu kibuga kye Masaka ne Kalangala gasigadde gasomesa
E Buwama, abayizi baweze okwegatta ku basomesa baabwe ssinga akeediimo katuuka olunaku lw’enkya
E Lwengo ku Basomesa 1403 beebalina mu disitulikiti, 300 beebalinnye ku masomero ate nga nabo tebasomesa
Ate e Soroti embeera teyawukanye ku yajjo
Atwala ebyenjigiriza mu disitulikiti alabye biri bityo n’ayita olukiiko lw’abakulira amasomero n’ekigendererwa ky’okubakkakkanya kyokka nga byonna kusiiwa nsaano ku mazzi