Akakiiko akalondesa kagaanye okuwandiisa akulira ekibiina kya DP Norbert Mao.
Ono erinnya lye terisangiddwa ku lukalala lw’abalonzi ate nga kino kyekimu ku bisanyizo.
Mao abadde atambulira ku lukalala olubadde lukozesebwa okuva mu mwaka gwa 1996 kyokka nga luno lwaggaako.
Mao ategeezezza nti webakolera olukalala olupya nga mulwadde era nga teyasobola kuwandiisibwa bupya.
Mao agambye nti wabula tatidde kubanga akimanyi nti z’enkola za gavumenti era n’agattako nti wakwebuuza ku bannamateeka be okulaba ekiddako
Kirindiriddwa okulaba oba Mao anetereeza okudda enkya ng’ebintu abitereezezza
Mao abadde ayagala kukiikirira bantu b’ekibuga kye Gulu mu palamenti.