y’abakyala ababiri abakubiddwa mu kwegugunga kw’abasuubuzi ba Energy centre yeeralikiriza.
Abakoseddwa kuliko Carol Nagawa omutuuze we Kitintale Zone 1 nga ono yakubidwa essasi ly’ekipiira mu kugulu, ate yye Yudaya Nabulime nga mutunzi wa airtime wansi w’ekizimbe yajjiddwaamu eriiso nga asiiba mu maziga olw’okufuna obulemu nga teyenyigidde mu buvuyo.
Twogedeko n’aboluganda lw’abantu bano nga basaba bafune obujanjabi okuva mu gavumenti olw’ensonga nti babaadde ku mirimu gyaabwe
Olunaku lwajjo abasubuuzi bo ku Energy center ne City complex beekalakasizza olw’okwongezebwa kw’ebisaale bya masanyalazze.